Musomi mu'misiri alina eddoboozi dunji, era yakkiribwa okusomesa ensoma ekkumi, era alina kulaani eziwerako mu nsoma ez’enjawulo
Nzalwa ye libya, era yakwatako ekifo ekyokubiri mu mpaka za kulaani eza buli mwaka ezitegekebwa e dubai mu gwanga lya United Arab Emirates.
Musomi omu Algeria, era alina ekitabo kya kulaani ekyesigamwako mu ministule y'ensonga z'eddiini mu Algeria ku nsoma ya warsh gyeyajja ku naafi'i mu lunyiriri lwa Aswbahaani
Musomi mu'morocco
Omu ku basomi abaatikirivu e morocco
Wa kitongole ekisomesa kulaani n'emisomo gyayo mu saudi arabia, era imamu wa muzikiti gw'omulangira Abdallah bin Muhammad e Utayqa, Riyadh
Musomi mumisiri, Era yey'imamu ate omusomi wa kutuba w'omuzikiti gwa Raym ku Dubai complex investment
Musomi asibuka e bosiniya, imamu w'omuzikiti gwa zagreb e bikriwwatiya
Pulofesa wa misomo gya hadiith za nabbi mu yunivasite ya Darul uluum mu kitundu kye diyobandi mu buyindi, Ye mukulu w'ekitongole ky'abamanyi e buyindi -Ekitongole ky'obusiraamu ekisinga obunene n'obukadde eky'amaanyi
Ye Jazaa'a mutabani wa Fulayh Hamuud Alsuwaylih, yazaalibwa kuwaiti mwaka 1969, Yomu kubasomi abasinga obwatikirivu mu gwanga lya kuwaiti, yafulumira mu yunivasite ya kuwaiti mu misomo gy'obusiraamu namateeka. Mukiseera kino musomesa wa kulaani namateeka gayo mu yunivaasite eyo yennyini.