×
Image

Obwenkanya Wakati W’abaana - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu gwokwenkanyankanya wakati wabaana, obukulu n’obulungi bwakwo, n’akabenje akali mubutenkanyankanya wakati wabwe.

Image

Obwennyini Bwekyengera - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’ekyengera n’obwennyini bwakyo nakiki ekigwanidde eri oyo Allah gwa wadde ekyengera.

Image

Obulungamu Buva Eri Allah - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’obulungamu, nemiteeko gyabwo, era nti Allah yekka yaluggamya, n’ekinyusi ekikulu ekiri mu kukowoola abantu okudda eri Allah.

Image

Allah Yasukkulumya Wakati W’abaddu - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’okusukkulumya wakati wa baddu, n’ekigendererwa mukwo, oluvannyuma naawa ebimu ku byokulabirako kwekyo.

Image

Okwewola - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’okwewola, okulamula kwakwo, amateeka agakufuga, n’emiteeko gy’abantu mukwo. Era nti Allah yesigaliza okugabirira ebitonde bye byonna.

Image

Olina kigendererwa ki mubyokola ? - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno nti omuddu yenna singa alongoosa enniya ye nassaayo ebirowoozo kwekyo kyakola, Allah amuteeramu obwangu, nemikisa era abeera mukubo lya Allah. Era n’akola ekyennyume kyekyo abeera mu kubo lya Sitaani

Image

Empisa Ennungi - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Ekigendrerwa mu mpisa ennungi, ekifo, obukulu, nobulungi bwazo mubusiraamu, era nti muzo mulimu ez’obutonde n’omuntu zafuna obufunyi, era nti kigwanidde eri buli musiraamu okwelwanako okulaba nga alongoosa empisa ze

Image

Ebintu Bisatu Mubikwate - (Luganda)

Shk. Yesigamiza omusomo guno ku Hadiith ya Abi Qabsha, yagamba: Nawulira omubaka wa Allah nga agamba nti: ‘ebintu bisatu mbilayirirako, era mbanyumiza hadiith mugikwate: 1:Emmaali y’omuddu tekendeera nakusaddaaka, 2: era omuddu tayinza kulyazamaanyizibwa kintu kyonna naguminkiriza okujjako nga Allah amwongera kitiibwa, 3: era omuddu tayinza kuggulawo mulyango gwakusabiriza okujjako nga....

Image

Kibamalirenga Ekifaananako Nga Entanda Y’omutambuze - (Luganda)

Shk. Yesigamiza omusomo guno ku kyafaayo kya swahaaba ayitibwa Salimaan Alfaaris bweyali kundiri yokufa Saad namulambula namulaba nga akaaba…………………yatusuubiza natugamba nti kibamalire nga okukunganya munsi eno ekigerero ekyenkananga entanda yomutambuze………..

Image

Yenna Eyelabira Okujjukira Allah Alina Obulamu Obwakanyigo - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola amakulu g’obulamu obwakanyigo, era nti empeera omuntu gyafuna esiinziira kumirimu gye

Image

Kiki Kyolina Okkola Nga Omazelirizza Ibaada - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola nti kikata eri buli musiraamu oluvannyuma lwa ibaada okwenenyeza allah n’okumusaba okugikkiriza sossi kujaganya

Image

Okuwolerezebwa - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Obukulu bwokuwolerezebwa, era nti quran nokusiiba bijja kuwolereza abaddu kulunaku lwenkomerero, era nti ne nabbi (s.a.w) ajja kuwolereza ekibiina kye, n’akakwakkulizo k’okuwolereza kusiima kwa allah