×
Image

ABANTU BANA ALLAH ABASUNGUWALIRA - (Luganda)

SHK. YAYOGERA OKUSOOKERA DDALA NTI ABANTU BANA ALLAH YABASUNGUWALIRA OLUVANNYUMA NANNYONNYOLA KO OMUTEEKO GUMU ‘ATUUNDA NGA ALAYIRA’

Image

EBINTU BIBIRI ABANTU BABITAMWA - (Luganda)

YANNYONNYOLA SHK MUMUSOMO GUNO NTI EBINTU BIBIRI ABANTU BABITAMWA OKUFA NOKUKENDEERA KWEMAALI

Image

Abakuzira Okuwasa - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno abamu ku bakuzira okuwasa okugeza nga maama wo, muwala wo, maama wamukyala wo, omukazi omwenzi, nabalala ne nsonga lwaki bazizibwa.

Image

Abantu Basatu Allah Yaziyiza Kubo Okuyingira Ejjanah - (Luganda)

Shk. Yesigamiza omusomo guno ku hadith yannabi (s.a.w) yagamnba nti abantu basatu allah yaziyiza kubo ejjana: omunyi womwenge, ayisa obubi bakadde be, n’omusajja sekibotte oyo atafaayo kubwonoonefu bwabantu be.

Image

Allah Agezesa Abaddu Be - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Amakulu g’okugezesabwa, ekigendererwa mukwo, n’emiteeko gyakwo.

Image

Obulamu Obulungi Bunoonye Wa Allah - (Luganda)

Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Yahya Mwanje, era nga yannyonnyola mugwo amakulu ge kigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti: “Ayi Allah tewali amma oyo gwoba owadde, era tewali awa oyo gwoba ommye, era ntiebyo byonna biriwo kubwenkanya bwe n’enkomerero ennungi eri abo abatya Allah.

Image

Okwawula Halaal Ne Haraam - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomu guno amakulu ga halaal ne haraam, nenjawulo eri wakati wabyo, n’obukulu bwokubimanya, era nti ekiri halaal ekyo Allah kyeyafuula halaal, ne haraam kyekyo Allah kyeyafuula haraam, nakubiriza abasiraamu okufuula halaal Allah kyeyafuula halaal, n’okufuula haraam ekyo Allah kyeyafuula haraam

Image

Ebyokuyiga Ebiri Musurat Al-Asr - (Luganda)

Shk. Yatandika omusomo guno n’okunnyonnyola amakulu ga asr, olunannyuma n’ayogera ebyokuyiga ebirimu, nti allah yayogera muyo ebikuyamba okuwona okufaafaganirwa: (okukkiriza allah, okkola emirimu emirungi, obuguminkiriza, okulagira empisa ennungi nokuziyiza empisa embi)

Image

Allah Yatonda Omuntu Ate N’asinza Ebitali Ye - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola nti obulyazamaanyi obusinga obunene yemuntu okulekawo eyamutonda ate nasinzaamu atali ye, n’okumugabirira ate neyebazaamu mulala.

Image

Mazima Allah Yemufuzi Wabafuzi Bonna - (Luganda)

Shk. Yazimbira omusomo guno kutteeka lya allah eri gamba: ‘ mbagambe nti allah yemufuzi wabafuzi...’ nannyonnyola nti allah akola mubufuzi bwe kyonna kyaba ayagadde era avunaana ate ye tavunaanwa, awa kubufuzi bwe gwaba ayagadde.

Image

Enyambala Yomusajja Omusiraamu - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Nti allah bwe yatulagira okubikka obwereere, nabbi (s.a.w) yatubulira ebitendo byo lugoye lyomukkiriza nagaana abasajja okukweyesa nengoye ezibakwata.nekibonerezo kyokweyesa

Image

Bivirako Okwonooneka Kw’abaana - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Mumusomo guno ensonga satu ezivirako okwonooneka kwabaana, enkuza embi, obwavu, n’okwawukana kwabazadde.