×
Image

OBUKWAKKULIZO BWOKUWASA - (Luganda)

Yayogera Shk. Wano obukwakkulizo bwokuwasa buna era nga bwebuno; 1: Okubaawo kwabafumbo ababiri, 2:Okubaawo kwabajulizi babiri nga besiimbu, 3:Okusimagana wakati wabagenda okufumbiriganwa, 4: Okubaawo kwoyo alina obuyinza kumugole omukyaala (waliy) era alina okuba nga mutereevu mu ddiini.

Image

Obukwakkulizo Mukuwasa - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Okusookera ddala enjawulo wakati wobukwakkulizo bwokuwasa n’obukwakkulizo mukuwasa, nabiki ebibeeramu obwenkanya wakati w’abakyala, nemiteeko ebiiri mubukwakkulizo bwokuwasa obutuufu nobukyamu nebitendo by’omukyala omulongofu.

Image

Okuvvunula Ekitundu Ekisembayo Mu Surat Al-Kahfi - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola mumusomo guno amateeka agakenenulwa mu ayaat zino nga okusazibwamu kwemirimu gyabakafiiri, era obuddo bwabwe bwamumuliro, era nti empeera yabakkiriza kuyingizibwa janat, era ebigambo bya allah tebigwayo, nokugaana okugatta ku allah mukusiinza