×
Image

OLUGOYE LW’OMUSIRAAMU - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola mukatundu kano nti Nabbi (s.a.w) yatugaana okwambala olugoye oluliko ekifaananyi kyonna, n’oluliko akabonero konna kububonero bwabakaafiiri, nolulina langi eyakyenvu omutwakaavu, nemmyuufu entwakaavu.

Image

EBINTU BIBIRI ABANTU BABITAMWA - (Luganda)

YANNYONNYOLA SHK MUMUSOMO GUNO NTI EBINTU BIBIRI ABANTU BABITAMWA OKUFA NOKUKENDEERA KWEMAALI

Image

BAANI ABAFUNA ZAKAATUL FITR - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Nti zakaatul fitr yalaalikwa lwa kuliisa banaku era nti tegabibwa mumiteeko omunaana nga bwekiri ku zakaatul maali.

Image

LONGOOSA OBUSIRAAMU BWO - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola nti kigwanidde eri buli musiraamu ayagala obuwanguzi okulongoosa obusiraamu bwe nga akola ebyo ebyamulagirwa era n’okulekayo ebyobujeemu.

Image

ENKOMERERO EMBI - (Luganda)

Yasomesa Shk. Mukatundu kano ekigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti: Mazima omuddu ayinza okuwangaala nga akola emirimu gy’abantu bomujjana okutuusa nga abuzaayo ekigero ky’enzira agiyingire ate n’akola emirimu gyabantu b’omumuliro naguyingira”

Image

OMUNTU ATASIIBA ALAMULWA ATYA - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno okusookera ddala obulungi bwokusiiba, oluvannyuma nannyonnyola emiteeko esatu egy’abantu abatasiiba nokulamula kw’obusiraamu kubuli muteeko.

Image

OKUGERA KWA ALLAH KUBA N’EKIGENDERERWA - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mukatundu kano nti Allah teyatonda kibi nga tekiriimu kalungi konna, era nti okugera kwe kujja lwakigenderwa sinsonga omuntu akitegedde oba nedda.

Image

EMBEERA Z’ABASALAF NE QUR’AAN - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mukatundu kano nti abasalaf baling bakaaba nga basoma Qur’aan era tebalabankanaanga butagisoma okujjako nga nsonga ya ddiini

Image

AMAKULU G’AMAHALE - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mukatundu kano amakulu g’amahale nekigendererwa ekikulu mugo

Image

TOKKIRIZIBWA KUWASA MUKYALA MWENZI - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu katundu kano nti Allah yaziyiza okuwasa n’okufumbiza omwenzi.

Image

DDI OKUKKIRIZA LWEKUTAGENDA KUGASA - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Nti omuntu yenna alikkiriza Allah oluvannyuma lw’okulaba obubonero bw’enkomerero obunene tagenga kugasibwa nabukkiriza bwe

Image

BIDIA MUKUWASA - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mukatundu kano nti ezimu ku bidiat mu kuwasa ensangi zino gyebayita “Empeta y’obufumbo” era nti okwo kuba kwefanaanyiriza bakafiiri