×
Image

EKYENGERA KY’AMAGEZI - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Nti enjawulo eyamaanyi wakati w’omuntu n’ebisolo ge magezi, era Allah yasukkulumya omuntu n’amagezi kubitonde ebirala, Oyo yenna atakozesa magezi ge kwawula Allah, ebisolo bimusinga

Image

SWADAQA EKULUKUTA - (Luganda)

SHK. Yannyonnyola ekigendererwa muswadaqa ekulukuta mubusiraamu, obukulu n’obuluungi bwayo, n’akubiriza abasiraamu okuwaayo swadaqa ezinabayamba nga bavudde kunsi

Image

EBIGENDERERWA BY’OKUSIIBA - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mumuso guno nti ebimu kubirungi bya Allah eri Ummah eno kwekuba nti yatulaalikako okusiiba, era n’ayogera ebibu kubigendererwa by’okusiiba nga mulimu: Okuzza obujja obukkiriza n’okutya Allah, okusonyiyibwa, mulimu emigaso egyobulamu, okuvuganya wakati wabantu, oluvannyuma nagerageranya wakati wokusiiba nempagi endala.

Image

OKUNNYONNYOLA EMPANGAALA Y’OMUSIRAAMU - (Luganda)

Omusomo guno gwasomesebwa Dr. Yahya Ssemuddu, era nga yannyonnyola mugwo obujjuvu bwe ddiini y’obusiraamu, era nti Nabbi yali kyakulabirako kirungi eri obulamu bw’omusiraamu, era n’ayogera ebivunaanyizibwa by’omuntu eri Allah we, n’eri Nabbi, eri omwogwe n’abantu be, n’eri abantu banne nebazadde be.

Image

OBULUNGI BWA LAILATUL QADRI - (Luganda)

Omusomo guno gwa somesebwa Dr. Yahya Ssemudde era nga yannyonnyola mugwo amakulu ga Lailatul qadri, n’obulungi bwakyo nti: Qur’aan mweyakkira, era nti kisinga emyezi lukumi obulungi, era kiro kyamikisa n’amirembe, era bamalayika bakkirikalamu, era kibaamu okugera kwebinaabaawo mu mwaka ogujja, mulimu n’okusonyibwa amazambi

Image

BIKI EBITOOLWAMU ZAKAAT - (Luganda)

Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Idriisa Luswaabi, era nga yannyonnyoleramu obukulu bwa zakat nobulungi bwaayo, n’ebintu ebivaamu zakaat: zaabu ne feeza, ebisolo ebirundibwa, ebirime n’ebibala, n’ebyobusuubuzi

Image

ZAKAAT Y’ABEMISAALA - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Amakulu ga zakaat mululimi ne mumateeka, n’obulungi bwayo, nekigero ekitandikirwaako okuwa zaka mu sente za Uganda, n’engeri abemisaala gye bawaamu zakaat, n’ebibonerezo by’abatawa zakaat.

Image

OKUNNYONNYOLA EMIGASO GYA HIJJA - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Nti Allah yatuteerawo ebiseera byokufuna ebirungi, nga ebiseera by’okusiiba, era ebimu kubirungi Allah byeyawa Ummah eno kwekuba nti yatuteerawo okukola hijja era nga erimu emigaso mingi: okwenkanya wakati w’abantu, okuwula Allah, okuvuganga mubirungi, okuteekateeka omusiraamu bulungi, okwegatta kwa Ummah

Image

OBULUNGI BWA A’SHUURA’A - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Amakulu g’olunaku lwa A’shuura’a, ebyafaayo byalwo, obukulu n’obulungi bwalwo mubusiraamu n’engeri gyelusibibwamu.

Image

OKUNYWEZA OLUGANDA LW’OBUSIRAAMU - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Obukulu bw’oluganda lwobusiraamu, n’obuluungi bwakwo, oluvannyuma nannyonnyola amakubo agayamba okunyweza oluganda luno.

Image

OKULAMULA KW’OBUSIRAAMU KUKIZAALA GUMBA - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Mumusomo guno amakulu gekizaala gumba, n’amakubo agakozesebwa muyo n’okulamula kwa sharia kugo, n’obukwakkulizo bwakwo

Image

EBIKOLEBWA MU HIJJA NE UMRAH - (Luganda)

YANNYONNYOLA SHK. NTI EKINYUSI EKIKULU MUMIKOLO GYA HIJJA NE UMRAH KUNYEZAWO KWAWULA ALLAH N’OKUMUJJUKIRA, N’EMPSA ZA HIJJA, NEMIRIMU GYAYO.