×
Image

EBYAFAAYO BYA NABBI IBRAHIIM - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola mu musomo guno butya Nabbi Ibrahiim bweyawangaala nabantu be nga atongoza Allah songa ate bbo basinza masanamu nebyokuyiga ebirimu

Image

EKIRAAMO KYA NABBI ERI ABI HURAIRAT - (Luganda)

Yayogera Shk. Nti owekitiibwa Nabbi yalaamira Abu hurairat ebintu bisatu; 1: okusiibanga ennaku satu mubuli mwezi, 2: obutalekangayo raka’a ebbiri eza swalat Dhuha, 3: obutebaka nga tasadde witiri.

Image

Okusaba Mubusiraamu - (Luganda)

Amakulu g’okusaba, ekifo kyakwo, engeri yakwo, n’obukulu bwakwo mubusiraamu.

Image

EMITEEKO GYABANTU MUKUGOBERERA NABBI (S.A.W) - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu katundu kano obukulu bwokugoberera Nabbi, nobuwufu bwakwo eri omuntu, n’emiteeko gyabantu mukwo.

Image

EBITENDO BY’OMUKOWOOZE - (Luganda)

Omusomo guno gwasomesebwa Dr. Abdallah Al huthairy, eri ba Imaam ne be badua’t e Uganda, era nga yannyonnyola mugwo obukulu bwokkowoola eri Allah, oluvannyuma nayogera ebimu ku bitendo byoyo akawoola eri Allah, nga okwesibirira okumanya kwa sharia, nebikuirikiriza, obuguminkiriza, nokwetikka obuvunanyizibwa, okkozesa amagezi, nokwekwata ku Qur’aan ne sunna, nokwewala enjawukana.

Image

Ebintu Bisatu Kabonero Kakugulumiza Allah - (Luganda)

Yannyonnyola shk. nti ensonga satu kabonero akalaga nti ogulumiza allah: okuwa ekitiibwa omukadde omusiraamu, n’omuntu eyakwata quran nga tasukka kikomo mukugiteeka munkola era nga tagyesamba, n’okuwa ekitiibwa omukulembeze omwenkanya.

Image

Temusemberera Nga Obwenzi - (Luganda)

Amakulu g’obwenzi, lwaki bwawerebwa, ekibonerezo kyabwo.

Image

Okunonya Okumanya - (Luganda)

Amakulu g’okumanya, ekifo n’obuluungi bwakwo mubusiraamu, emiteeko gyokumanya.

Image

OKWEKWAATA KUBUSIRAAMU - (Luganda)

AMAKULU G’OKWEKWATA KUBUSIRAAMU, EKIFO NOBUKULU BYAKWO, OBUBONERO N’OBUUFU BWAKWO KUMUNTU.

Image

ENZIKIRIZA Y’OMUSAALABA NOBUFU BWAYO - (Luganda)

YANNYONNYOLA SHK. MUMUSOMO GUNO OBWENNYINI BW’ENZIKIRIZA Y’OMUSAALABA N’OBUFU BWAYO

Image

Ebintu Bisatu Bikuwonya Okuyingira Omuliro - (Luganda)

Obukkiriza nempagi zaabwo mukaaga, okugoberera obulungamu okuva eri allah, okuyisa banno nga bwoyagala bakuyise.

Image

MWEKWATE KUMUGUWA GWA ALLAH MWENNA WAMU TEMWAWUKANAANGA - (Luganda)

Khutuba eno yasomebwa Dr. Yahya ssemuddu era nga yannyonnyoleramu amakulu ga A’ya eno “Mwekwate ku muguwa gwa Allah mwena wamu temwawukananga” nagerageranya embeera abasiraamu zebalimu olwaleero nenga Nabbi tannatumwa, nabutya Nabbi bweyagatta wakati wabwe, nakubiriza abasiraamu okwenyeza kubumu era obutayawukana