×
Image

Embeera Z’omusiraamu - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno empisa omusiraamu z’atekeddwa okuba nazo, era nti obusiraamu bukyusa empisa n’ebikolwa by’omuntu, era nti walina okubaawo enjawulo wakati w’omusiraamu natali musiraamu.

Image

Eby’okuyiga Mu Hadiith Ya Hudhayifa - (Luganda)

Yannonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu gebigambo ebiri mu (s.a.w) Hadiith ya Hudhaifa,: “Abantu baali babuuza Nabbi ebirungi nga nze mubuuza bibi olwokutya okubigwamu” n’ebyokuyiga ebirimu.

Image

Endooto Mubusiraamu - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’endooto n’emiteeko gyaazo, n’obujulizi bwabuli muteeko.

Image

Obwenkanya Wakati W’abaana - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu gwokwenkanyankanya wakati wabaana, obukulu n’obulungi bwakwo, n’akabenje akali mubutenkanyankanya wakati wabwe.

Image

Obwennyini Bwekyengera - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’ekyengera n’obwennyini bwakyo nakiki ekigwanidde eri oyo Allah gwa wadde ekyengera.

Image

Ezimu kunsobi zabafumbo “obutabulirwangana” - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Obukulu bwokubuliragana wakati wabafumbo, n’ekigengererwa mukwo, nengeri gyekukolwamu, nabiki ebivaavu singa kulekebwa

Image

Hijjat Yanabbi Eyasembayo - (Luganda)

Amakulu gaayo, ekifo n’obukulu byayo mubusiraamu, ebyagirimu n’obuufu bwayo mubusiraamu.

Image

Abakuzira Okuwasa - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno abamu ku bakuzira okuwasa okugeza nga maama wo, muwala wo, maama wamukyala wo, omukazi omwenzi, nabalala ne nsonga lwaki bazizibwa.

Image

Obulamu Obulungi Bunoonye Wa Allah - (Luganda)

Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Yahya Mwanje, era nga yannyonnyola mugwo amakulu ge kigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti: “Ayi Allah tewali amma oyo gwoba owadde, era tewali awa oyo gwoba ommye, era ntiebyo byonna biriwo kubwenkanya bwe n’enkomerero ennungi eri abo abatya Allah.

Image

Okukuuma Obuyonjo - (Luganda)

Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Abubakar Sserunkuuma era yannyonnyola mugwo ekifo, obukulu n’obulungi bwobuyonjo mu busiramu era nakubiriza abasiraamu okufaayo ennyo okukuuma obuyonjo

Image

Okuvvunula A’yat Ezisooka Mu Surat Nisaai - (Luganda)

Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Mahmood Kibaate, era nga gulimu ebitundu bibiri, era yannyonnyola mugwo amakulu gebigambo ebirimu, n’amateeka agalimu nga amateeka g’okuwasa nagobusika, n’emigaso egikenenulwa muzo.

Image

Okutegeera Ebyafaayo Bya Nabbi - (Luganda)

Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Mahamood Kibaate era nga yannyonnyola mubufunze obulamu bwa Nabbi, era nga Daawa ye yalimu emiteeko ebiri. 1:Daawa ye makka, era nga yalimu emitendera esatu, eyekyaama, eyolwaatu, nebweru wa makka, 2: Daawa ye madiina. Era nga buli kifo awa ebyoguyiga ebikenenulwamu