×
Image

Ebintu Bisatu Mubikwate - (Luganda)

Shk. Yesigamiza omusomo guno ku Hadiith ya Abi Qabsha, yagamba: Nawulira omubaka wa Allah nga agamba nti: ‘ebintu bisatu mbilayirirako, era mbanyumiza hadiith mugikwate: 1:Emmaali y’omuddu tekendeera nakusaddaaka, 2: era omuddu tayinza kulyazamaanyizibwa kintu kyonna naguminkiriza okujjako nga Allah amwongera kitiibwa, 3: era omuddu tayinza kuggulawo mulyango gwakusabiriza okujjako nga....

Image

Kibamalirenga Ekifaananako Nga Entanda Y’omutambuze - (Luganda)

Shk. Yesigamiza omusomo guno ku kyafaayo kya swahaaba ayitibwa Salimaan Alfaaris bweyali kundiri yokufa Saad namulambula namulaba nga akaaba…………………yatusuubiza natugamba nti kibamalire nga okukunganya munsi eno ekigerero ekyenkananga entanda yomutambuze………..

Image

Empisa Ennungi - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Ekigendrerwa mu mpisa ennungi, ekifo, obukulu, nobulungi bwazo mubusiraamu, era nti muzo mulimu ez’obutonde n’omuntu zafuna obufunyi, era nti kigwanidde eri buli musiraamu okwelwanako okulaba nga alongoosa empisa ze

Image

Abasalaf B’alinga Baguminkiriza Nga Bagezeseddwa Ne Bakyaala Babwe - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Nti Abasalaf bebaasinga mu bantu bonna okuguminkiriza nga bagezeseddwa nebakyaala babwe, olwokukuuma obufumbo, n’aleeta eby’okulabirako nga ekyafaayo kya Nabbi Nuuh nemukyalawe, ne Nabbi Luutu, era nti tekigwanidde eri omusiraamu yenna okwanguyiyiza okwawukana ne mukyalawe nga bafunye obutakkaanya

Image

Okujulira N’okwatuza Nga Tuwoowa - (Luganda)

Yannyonnyola Shk.enjatula ezikozesebwa mukuwoowa, obukulu bwazo n’engeri gyezikozesebwamu, n’okulamula ku kujulira mukuwasa, n’obukwakkulizo bw’abajulizi ababiri.

Image

Okwawula Halaal Ne Haraam - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomu guno amakulu ga halaal ne haraam, nenjawulo eri wakati wabyo, n’obukulu bwokubimanya, era nti ekiri halaal ekyo Allah kyeyafuula halaal, ne haraam kyekyo Allah kyeyafuula haraam, nakubiriza abasiraamu okufuula halaal Allah kyeyafuula halaal, n’okufuula haraam ekyo Allah kyeyafuula haraam

Image

Okwenenya Eri Allah - (Luganda)

Yannyonnyola shk.mu musomo guno amakulu ga tauba n’obukwakkulizo bwayo

Image

Amateeka G’okugatta Eswala, N’okusaalira Kukyebagalwa - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Engeri y’okusaalira kukyebagalwa, nalwaki kyakkirizibwa, nekigendererwa, mukugatta esswala, obukwakkulizo bwokugatta, noluvannyuma n’addamu ebibuuzo

Image

Okusaalira Mubifo Ebirimu Ebifaananyi - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Nti Nabbi (s.a.w) y’agaana okusaalira mubifo ebirimu ebifaananyi, era n’ayogera ebigambo byabamanyi bingi kunsonga eno, n’ensonga lwaki kyaziyizibwa, nokulamula kw’obusiraamu kukusaalira mu muzikiti ogulimu entaana

Image

Okunnyonnyola Obukwakkulizo Bwe Swala - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Amakulu gobulombolombo bwe swala, eri nti eswala y’omuntu tetuuka nga tabutuukirizza, era nga buli butaano: Okuyingira kwebiseera bwayo, okwewala obukyafu/ okwetukuza (omubiri ne kifo), okwolekera ekibula, okumalirira

Image

EMPISA ENNUGI - (Luganda)

AMAKULU GAAZO, EKIFO N’OBULUUNGI BYAZO MUBUSIRAAMU, EZIMU KUMPISA ZETUTEEKEDDWA OKWEKWATAKO.

Image

(Esswala Y’okusiikirizibwa (Kw’enjuba N’omwezi - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Amakulu ga Kusuufu, nalwaki esswala ya kusuufu yalaalikibwa, okulamula kwayo, n’ekifo kyayo mubusiraamu, n’engeri gy’esaalibwamu, era nti embeera eno gweba esaanzewo kimugwanidde okuyitiriza okkola emirimu emirungi