×
Image

Lwaki Allah Yatuma Ababaka - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Nti allah yatuma ababaka basomese abantu okwawula allah, nabutya bwebalina okumusinza, era babannyonnyole empeera yooyo akkiriza allah era namugondera, neyooyo amukafuwalira n’amujemera

Image

Amanya Allah Namugondera Ayingira Ejjana - (Luganda)

Yannyonnyola shk.obwennyini bwokumanya allah n’okumugondera nobukulu bwako, era nti ezimu kunsonga ezigenda okuyingiza abaddu ejjana kumugondera.

Image

Okuwulira N’okugondera Abakulembeze - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Amakulu gomukulembeze, nobukulu bwokumugondera nokwekwata kubumu.

Image

Okukkiriza Okuzuukira - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Amakulu g’okuzuukira, n’obujulizi obukuyimirizaawo, n’embeera z’abantu mukuzuukira

Image

Omusiraamu Byatekedwa Okumanya - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Nti buli musiraamu alina okumanya nti allah yemutonzi omugabirizi, era nti yenna ayawula allah n’agondera omubaka takkirizibwa kusembeza balwanyisa allah n’omubaka we, era nti allah tayagala kumugattako kintu kyonna.

Image

Okkolera Kubivunaanyizibwa Bya Laa Ilaaha Illa Allah - (Luganda)

Yayogera shk. kumakulu ga laa ilaaha illa allah nebivunaanyizibwa byayo.

Image

AYI ALLAH TULONGOOSEREZE ENSI YAFFE N’EDDIINI YAFFE - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Amakulu ge dduwa eno “ Ayi Allah tukusaba otulongoseze ensi yaffe, ne ddiini yaffe nenkomerero yaffe, era nti kigwanidde buli musiraamu yenna okugyekwata ko.

Image

MUBEERE ABADDU BA ALLAH ABALONGOOSA - (Luganda)

YANNYONNYOLA SHK. NTI ALLAH AYAGALA MUMUDDU OKULONGOOSA MUBULI KINTU KYONNA ERA NTI YENNA AYAGALA OKULONGOOSA YEKENNENYE EBYOKUYIGA EBIRI MU QURAN

Image

OKWEKWAATA KUBUSIRAAMU - (Luganda)

AMAKULU G’OKWEKWATA KUBUSIRAAMU, EKIFO NOBUKULU BYAKWO, OBUBONERO N’OBUUFU BWAKWO KUMUNTU.

Image

Obusiraamu Diini Nyangu - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Ebimu kubiraga obwangu bweddiini y’obusiraamu okugeza nga okukkirizaomutambuze okusiibulukuka, n’okumukkiriza okusala kuswalah eze raka’a ennya

Image

OLUGOYE LW’OMUSIRAAMU - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola mukatundu kano nti Nabbi (s.a.w) yatugaana okwambala olugoye oluliko ekifaananyi kyonna, n’oluliko akabonero konna kububonero bwabakaafiiri, nolulina langi eyakyenvu omutwakaavu, nemmyuufu entwakaavu.

Image

BAANI ABAFUNA ZAKAATUL FITR - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Nti zakaatul fitr yalaalikwa lwa kuliisa banaku era nti tegabibwa mumiteeko omunaana nga bwekiri ku zakaatul maali.