×
Image

Ebyokuyiga Ebyenzikiriza Mu Hijja - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Nti ekigendererwa ekikulu mumirimu gya Hijja kutongoza nakwawula Allah era nti ebifo byonna ebya hijja ne mirimu gyamu byeyawulidde kusiinzizaamu Allah era nti teri n’omu akkirizibwa kweterawo mizizo mubifo oba mumirimu okufaanaanako nga bwekiri mu Hijja kubanga ebyo byeyawulidde mukusiinza Allah.

Image

Obuluungi Bwennaku Ekkumi Eza Dhul Hijja - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola nti ennaku zino ekumi kaseera kakwenyagira mpeera, n’alaga obujulizi obulaga obuluungi bwazo, era okuba nga nti allah yazilayira kiraga obukulu bwazo, era n’alaga ebyeyawulidde kuzo, n’akubiriza abasiraamu okkoleramu ebirungi bafune empeera.

Image

Okunnyonnyola Eby’etteeka Mu Hijja - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Amakulu g’ebyetteeka mu hijja, nenjawulo eri wakati wempagi za hijja nebyetteeka muyo, olunnyuma nannyonnyola ebyetteeka mu hijja omusaanvu

Image

Okunnyonnyola Empagi Za Hijja - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Ekigendererwa mumpagi za hijja n’obukulu bwazo, oluvannyuma nayogera empagi za hijja ennya era nga zezino: okumalirila okuyingira mumikolo gyahijja (al ihiraamu), okwetoloola kaaba, okutaambula wakati wa swafa ne maruwa, n’okuyimirira mu arafat.

Image

Obukwakkulizo Bwa Hijja Ne Umrah - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Amakulu ga hijja ne umrah, n’ekifo kyabyo mubusiraamu, n’obujulizi bw’okulalikibwa kwabyo, n’obukwakkulizo bwabyo era nga bwebuno : obusiraamu, obukulu, amagezi, okuba omwana wabobwe, obusobozi, okuba ne maharami eri omukyala

Image

Byotekeddwa Okutunuulira Yenna Ayagala Okkola Hijja - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola nti kyatteeka eri omuntu yenna ayagala okkola hijja okutunuulira ebintu bino wammanga: okusaba allah okumusalirawo ekirungi, okwanguya okwenenya, okulekera abantu be ebyokkozesa ebibamala, okwetegekera entanda emumala mumaali ye eya halaal,okufaayo okuyiga emikolo gya hijja, nebirala.

Image

Okwenenya Eri Allah - (Luganda)

Yannyonnyola shk. amakulu g’okwenenya n’obukulu bwakwo, era nti okwolesa amazambi zezimu kunsonga eziviirako obutasonyiyibwa era nti tekirizibwa kywolesa bumogo bwabala.

Image

Embeera Z’obulamu Bw’obufumbo - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Mumusomo guno nti obulamu bw’obufumbo buteekeddwa okutunulira embeera eriwo, tebusanidde kubaamu mahale gasukkiridde, n’okudiibuuda mumbaga, n’okulabirira omukyala kulina kusinziira kunfuna ya musajja, era bulina okubaamu okuyisinganya obuluungi

Image

Ezimu Kumpisa Z’obusiraamu - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Mumusomo guno ezimu ku mpisa z’obusiraamu nga okwogera ebigambo ebirungi, n’okukuuma olulimi, obutakaafuza bannaffe, n’obutabeera basuutirizi.

Image

Obukwakkulizo Mukuwasa - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Okusookera ddala enjawulo wakati wobukwakkulizo bwokuwasa n’obukwakkulizo mukuwasa, nabiki ebibeeramu obwenkanya wakati w’abakyala, nemiteeko ebiiri mubukwakkulizo bwokuwasa obutuufu nobukyamu nebitendo by’omukyala omulongofu.

Image

Allah Gw’ayagaliza Obulungi Amugezesa - (Luganda)

Yannyonnyola shk. mu musomo guno nti Allah bwayagaliza omuddu we enkomerero ennungi amugezesa nokumubonereza nebibonerezo obwobwangu, ate Allah bwayagaliza omuddu enkomerero embi amuleka mubyonoono bwe n’atamufaako

Image

Okuvvunula Ekitundu Ekisembayo Mu Surat Al-Kahfi - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola mumusomo guno amateeka agakenenulwa mu ayaat zino nga okusazibwamu kwemirimu gyabakafiiri, era obuddo bwabwe bwamumuliro, era nti empeera yabakkiriza kuyingizibwa janat, era ebigambo bya allah tebigwayo, nokugaana okugatta ku allah mukusiinza