×
Shk. Yannyonnyola nti kyatteeka eri omuntu yenna ayagala okkola hijja okutunuulira ebintu bino wammanga: okusaba allah okumusalirawo ekirungi, okwanguya okwenenya, okulekera abantu be ebyokkozesa ebibamala, okwetegekera entanda emumala mumaali ye eya halaal,okufaayo okuyiga emikolo gya hijja, nebirala.