OBUSIRAAMU DDIINI Y'ABABAKA BA ALLAH
Ennimi omuvvunudwa omusomo
- Français - French
- Kurdî - Kurdish
- italiano - Italian
- български - Bulgarian
- Türkçe - Turkish
- Русский - Russian
- português - Portuguese
- العربية - Arabic
- English - English
- svenska - Swedish
- Wikang Tagalog - Tagalog
- español - Spanish
- čeština - Czech
- Deutsch - German
- অসমীয়া - Assamese
- 中文 - Chinese
- Tiếng Việt - Vietnamese
- ไทย - Thai
- тоҷикӣ - Tajik
- Bahasa Indonesia - Indonesian
- Shqip - Albanian
- magyar - Hungarian
- Kiswahili - Swahili
- فارسی دری - Unnamed
- বাংলা - Bengali
- Hausa - Hausa
- Кыргызча - Кyrgyz
- فارسی - Persian
- bosanski - Bosnian
- Nederlands - Dutch
- bamanankan - Bambara
- پښتو - Pashto
- ئۇيغۇرچە - Uyghur
- ქართული - Georgian
- azərbaycanca - Azerbaijani
- Kinyarwanda - Kinyarwanda
- Lingala - Unnamed
- română - Romanian
Emiteeko
Full Description
OBUSIRAAMU DDIINI Y'ABABAKA BA ALLAH.
Obusiraamu kwe kwewaayo eri Allah, Omutonzi era Omufuzi w'obutonde bwonna,n'okumugondera mu kumwagala n'okumussaamu ekitiibwa, era omusingi gw'obusiramu kwe kukkiriza Allah, era nti ye mutonzi; ate buli kitali yye kitonde, era nti yasaanidde okusinzibwa yekka nga tewali kimwegattako, tewali kisinzibwa mu butuufu [bwa kusinzibwa] okuggyako yye, alina amannya amalungi, n'ebitendo ebyawaggulu, era ye mutuukirivu awatali bukendeevu, tazaala era teyazaalibwa, era talina kimwenkana yadde ekimufaanana, era talabikira mu kintu kyonna mu bitonde bye.
Era obusiraamu y'eddiini ya Allah owa waggulu, era teriiyo ddiini yonna gyakkiriza mu bantu okuggyako yyo, era y'eddiini ba nabbi bonna -emirembe gibeere kubbo- gyebajja nayo.
Era mu misingi gy'Obusiraamu mulimu okukkiriza ababaka bonna, era nti Allah yatuma ababaka okutuusa ebiragiro bye eri abaddu be era nabassiza ebitabo, era eyasembayo mubbo yali Muhammad emirembe gibeere ku ye. Allah yamutuma ne ssemateeka ow'obwakatonda ow'enkomerero nga asangulawo amateeka g'ababaka abaakulembera. Allah yamuwagira n'ebyamagero ebinene, nga n'ekisinga obukulu ye Qur'an ey'ekitiibwa, [era nga yyo] bigambo bya mulezi wa bitonde, ky'ekitabo ekisinga obukulu ekimanyiddwa abantu, kyamagero mu bikirimu, ne mubigambo byakyo, n'enteekateeka yaakyo, kirimu obuluŋŋamu eri amazima agakutuusa eri okwesiima ku nsi n'enkomerero. Kikuumiddwa n'okutuusa leero mu lulimi Oluwarabu mwe kyakkira, temwakyusibwamu era temwawaanyisibwamu yadde ennyukuta neemu.
Era mu misingi gy'Obusiraamu mulimu okukkiririza mu ba malayika, n'okukkiririza mu lunaku lw'enkomerero; era [nga] mulwo Allah mw'alizuukiriza abantu okuva mu ntaana zaabwe okubabala emirimu gy'abwe, yenna aliba yakola ebirungi ng'ate mukkiriza ajja kufuna ebyengera eby'olubeerera mu Jjana, era oyo yenna eyagyeema n'akola ebikolwa ebibi ajja kuba n'ekibonerezo ekinene mu muliro. Era mu misingi gy'Obusiraamu mulimu okukkiriza ebyo Allah byeyagera ebirungi oba ebibi.
Era abasiraamu bakkiriza nti Isa (yesu) muddu wa Allah era mubaka we, era nti ssi mwana wa Allah; kubanga Allah waakitiibwa, tasobola kubeera na mukyala yadde omwana, naye Allah yatugamba mu Qur'an nti Isa (yesu) yali nabbi Allah gweyawa ebyamagero ebingi, era nti Allah yamutuma okukowoola abantu be badde eri okusinza Allah yekka, nga tewali kimwegattako, era yatutegeeza nti Isa (yesu) teyasaba bantu kumusinza, wabula naye yali asinza Mutonzi we.
Era Obusiraamu ddiini ekwatagana n'obubumbwa n'endowooza entuufu, era ekkirizibwa emyoyo emiramu, Omutonzi yagiteerawo ebitonde bye, era nga yyo ddiini ya bulungi n'okwesiima eri abantu bonna, teyawula mu bika, yadde langi, era abantu mu yo benkanankana, omuntu mu busiraamu tasukkuluma ku munne okuggyako okusinziira ku mirimu gye emirungi.
Era kikata ku buli muntu ategeera okukkiriza Allah nga Omulezi [we], n'obusiraamu nga eddiini, ne Muhammad nga Omubaka, era ensong'eno ssi ya kyeyagalire (wabula yatteeka) ku muntu; kubanga Allah ajja kumubuuza ku lunaku lw'amazuukira ku kiki kyeyayanukula ababaka. Bw'aliba nga yali mukkiriza, olwo ajja kubeera n'obuwanguzi n'okwesiima okunene, ate bw'aliba nga yali takkiriza, olwo aliba n'okufaafaagana okweyolefu.
Era yenna ayagala okuyingira Obusiraamu alina okugamba nti: (Ash-hadu Allaa ilaaha illa Allahu wa ash-hadu anna muhammada rasuulullah), ng'amanyi amakulu gaabyo era nga abikkiririzaamu; era mu ngeri eyo afuuka Omusiraamu. Oluvannyuma asoma amateeka amalala ag'obusiraamu mpolampola; asobole Okuyimirizaawo ebyo Allah byeyamulaalikako.
okwongera kwebyo kozesa omukutu guno:byenah.com
OBUSIRAAMU DDIINI Y'ABABAKA BA ALLAH.